Vous êtes sur la page 1sur 10

BAKATIKIRO BA BUGANDA NE BYE BAAKOLERA BUGANDA

NE UGANDA
Omwezi guno July, kati wano mu Buganda mwezi gwa byafaayo
nnyo. Guno gwe mwezi, Abaganda, nga tuli ne President
Museveni, wamu nAbataka, lwetwazzaawo Obwakabaka bwa
Buganda nga July 31, 1993, e Nagalabi, Buddo, mu Saza lye
Busiro.
Twamala emyaka 27 okuva mu May 1966 okutuuka nga July 31,
1993, ngObwakabaka tebuliiwo, kubanga Milton Obote, eyali
Executive Prime Minister yabugyawo mu 1966 bwe yalumba
Olubiri e Mengo namagye. Ekyo kyaava ku butategeragana
obwajjawo wakati we ne Sekabaka Mutesa II era eyali President
wa Uganda eyasooka.
Obutategeragana bwajja nga buva ku masaza abiri Buyaga ne
Bugangayizi okudda e Bunyoro oluvanyuma lwakalulu kekikungo
(referendum), mu 1964. Kabaka Mutesa yalwanyisa nnyo ekya
Masaza okudda e Bunyoro kyokka Obote namulemesa bwe
yawagira enyo era nayamba Bunyoro ku kyAmasaza okudda e
Bunyoro.
Abaganda, ne President Museveni, bazzaawo Obwakabaka bwe
bawangula Obote mu lutalo dekabusa olwamala emyaka etaano
okuva mu 1981, okutuka January 26, 1986.
Buli mwezi gwa July lwe gutuuka wabeerawo okujaganya
nemikolo egya buli ngeri mu Buganda wonna. Entikko yemikolo
ebeerawo ku lwa July 31 era Sabasajja Kabaka wa Buganda
Ronald Muwenda Mutebi II alabika eri Obuganda era naayogera
eri Obuganda.
Essira alisimba ku Baganda kukola nnyo nokusomesa abaana
nokuzimba Buganda. Emikolo egyomwaka guno gijja kubeera mu
Ssaza lye Butambala ku mbuga ye Ssaza e Kabasanda. Sabasajja
yalagira buli mwaka emikolo gibeere mu buli Ssaza okwetoloola
Buganda yonna.

Bwo yogera ku Buganda mu ngeri yonna, osokera ku Sabasajja


Kabaka nozaako Katikiro ne Gavumenti ya Buganda, Amasaza,
Amagombolola, Emiruka, nAbatongole mu byaalo.
Kirungi nnyo abantu abomulembe guno okumanya nokuyiga
ebyafaayo bya Buganda, nokumanya Abaganda abatali bamu
abaakola enyo okuzimba nokukulakulanya Buganda ne Uganda
mu ngeri ezitali zimu.
Ku mulundi guno tutunulide ba Katikiro ba Buganda abadewo
okuvira dala ku Sir. Apollo Kaggwa okutuuka ku Katikiro aliwo kati,
Owekitiibwa Katikiro Charles Peter Mayiga. Ekikulu ntunulide
ebintu ebikulu ebirungi bye byaakolera Buganda ne Uganda.
Kimanye nti ekintu ekirungi bwe kikolebwa mu Buganda, kibuna
Uganda yonna era kiyamba abantu bonna mu ngeri ezitali zimu.
Mu Buganda, Kabaka abeera ne Katikiro. (Abaganda bagamba nti
Katikiro ye Kabaka owebweru). Katikiro ye musajja Omuganda
Kabaka
gwalonda
okumuyambaako
okukulembeera
nokulungamya abantu ba Buganda.
Olwokuba nga Kabaka abeera mu Lubiri ebiseera ebisinga, Kabaka
akwasa Katikiro Omugo oguyitibwa Damula wabweru wOlubiri e
Mengo, ngabantu bonna balaba, ekitegeza nti Kabaka akkirizza
era awade obuyinza Katikiro oyo amuyambeko okukulembera
Obuganda. Katikiro yabeera nabantu buli lunaku. Kabaka ye
alabika bulabisi era lwanalabika Ensi yonna Katikiro agitegeza.
Obukulembeze bwa Buganda bufananira ddala nobwa Bungereza,
era Omuzungu bwe yatuuka wano mu 1862, yewuunya nnyo
okulaba nti tewali walala wonna mu Africa, okugyako wanno mu
Buganda, we yasanga Obukulembeze nga obwa Bungereza okuva
wagulu, okutuuka wansi.
Bakatikiro abaliiko nga Kabaka Mwanga tanaberaawo abo
sibogedeko. Buganda ebade ne Bakatikiro kumi nomu era omu ku
Bakatikiro abasinga okujukirwa ennyo nokwogerwako ennyo mu
Buganda ye Sir. Apollo Kaggwa.

Sir. Apollo Kaggwa yali Katikiro wa Buganda okuva mu 1884


okutuuka mu 1927 lwe yava mu bulamu bwEnsi eno. Bwoyogera
ku Sir. Apollo Kaggwa, era oteekwa okwogera ku Stanislus
Mugwanya eyali Omulamuzi wa Buganda ne Zakaliya Kitaka
Kisingiri eyali Omuwanika wa Buganda era bonna abasatu
bayitibwanga Abakulu Abasatu. Bonna abasatu bebaakulembera
Buganda nga Kabaka Sir. Daudi Chwa II akyali muto. Bayitibwanga
Buganda Regents mu Lungereza.
Ekintu ekikulu Sir Apollo Kaggwa kye yakolera Buganda ngali ne
banne ababiri, kwe kukola Endagaano yOlwenda, 1900
Uganda Agreement ne Bungereza era Endagaano eno
yeyatekawo Ensi eno Uganda. Uganda yafugibwa Endagaano eyo
okutukira ddala nga October 9, 1962, Uganda bwe yafuna
Okwefuga.
Abasajja abo bombi, Sir. Apollo Kaggwa ne Stanislus Mugwanya,
baalina obuyinza nga bwenkanankana, nga buli omu kyalagira
nga kibeera tteeka era omulala nga takiwakanya oba
okukikyuusa.
Sir
Apollo
Kaggwa
yeyali
akulira
Ediini
yAbakuristayo (kati Church of Uganda), nga Stanislus Mugwanya
yaakulira Abakatoliki.
Katikiro Apollo Kaggwa yeyazimba Kings College Buddo mu 1906
ne Gayaza High School nga ali nAbaminsani aba Church
Missionary Society (CMS), abaava e Bungereza. Omulamuzi
Stanislus Mugwanya yeyazimba Namilyango College mu 1902 nga
ali ne Bishop Henry Hanlon owa Catholic Mill Hill Missionaries
abaava e Bungereza. Era ye yazimba St. Henry Kisubi mu 1911
nga ali ne White Fathers. Sir Apollo Kaggwa ajukirwa nga
yawandiika ebitabo bingi ku Buganda. Yava mu Saaza Kyadondo
era yazikibwa ku kyalo Manyangwa mu Kyadondo.
Sir Apollo Kaggwa yasikirwa Katikiro omulala eyali omusajja
enjasa biggu, Martin Luther Nsibirwa era eyalina ekitone
ekyokulabira ewala (vision), eyava mu Ssaza lye Bugerere.
Martin Luther Nsibirwa yali Katikiro okuva mu 1927 okutuuka mu
1940 nawumula, wabula Sekabaka Mutesa II yamukomyawo ku
3

Bwakatikiro mu 1945 nga ebyokugayiza Makerere University


bikute wansi ne wagulu.
Ettaka ku kasozi Makerere lyali lyAbaami nAbakungu mu
Buganda era baali bagaanyi okuliwaayo nga ne Katikiro Wamala
alabika akiwagira. Governor eyaliiwo mu biseera ebyo, Sir Charles
Dundas eyali amaze okumanya enkola ennungi eya Martin
Nsibirwa, yategeeza Kabaka Mutesa anti kirungi akomyeewo
Nsibirwa eyali amanyidwa nti mukozi era mumalirivu, olwebyo
bye yali akoze bwe yali Katikiro, wamu nokuwereeza abavubuka
Abaganda mu Semataalo Owokubiri (1939/1945).
Katikiro Nsibirwa bwe yakomawo ku Bwakatikiro, Governor
Dandus naamugamba nti bwe mutakiriza kutuwa ttaka kugayiza
University ku kasozi Makerere, University tugitwala Kenya.
Katikiro Nsibirwa yamudamu nti todamu okwogera ekigambo
ekyo wano mu Buganda, University yaffe ya Uganda.
Katikiro Nsibirwa, nga Kamalabyona, yakola ekiwandiiko nga kiri
mu ngeri ya kiragiro (decree) nga kigamba nti Obwakabaka bwa
Buganda buwade Abaganda ettaka mu bitundu ebirala ebya
Buganda bave ku kasozi Makerere olwokugayiza University yaffe
Makerere. Katikiro bwe yasoma ekiwandiiko ekyo mu Lukiiko lwa
Buganda, Olukiiko lwona lwaakuba mu ngalo, ne bamuwagira nga
tewali akiwakanya, era mu biseera ebyo nga Katikiro bwalagira,
nga kiwedde.
Katikiro Nsibirwa ajukirwa nga yeyazimba Butikiro eri mu maaso
gOlubiri e Mengo, era yagizimbira mu myezi mwenda. Yagamba
nti Katikiro wa Buganda ateekwa kubeera kumpi ne Kabaka.
Katikiro
Nsibirwa
yeyazimba
ebitebe
byAmasaza
nAmagombolola gonna mu Buganda era kyova olaba nti zonna
enyumba zAmasaza nAmagombolola zifanagana (okugyako eye
Kyaggwe empya, eyazimbimbwa Kisosonkole bwe yali Sekibobo
mu 1957). Eye Kyaggwe enkadde eyazimbimbwa Nsibirwa kati
yeerimu office ya L.C 5 owa Mukono District.
Katikiro Nsibirwa bwe yatemulwa, ku Lutiko e Namirembe nga
September 5, 1945, nga ava okusaba mu saawa ezenkya,
4

yasikirwa Katikiro Michael E. Kawalya Kaggwa, eyali omwana


owokubiri owa Sir Apollo Kaggwa.
Kawalya Kaggwa yalwanako mu Sematalo Owokubiri (1939/1945).
Yali Musajja ateerya ntama era ateemwotya. Michael Kawalya
Kaggwa nOmulangira George Mawanda eyabeeranga e Salama,
nga be Badugaavu boka abaali bakirizibwa okunywa omwenge
gwAbazungu, whiskey, nokumugula mu maduka gAbazungu mu
biseera ebyo.
Katikiro Kawalya Kaggwa yakola ekyafayo mu 1949, nakati
Uganda kweyimiride, bweyakyala e Bungereza nakomawo
naagamba Governor, Sir John Hall, nti kati Abadugavu twetaaga
amazzi agemidumu netaala ezamasanyalaze era Bungereza
ekikole mangu nnyo. (Ekyewunyisa waaliwo Abaganda abatono
abatakitegera, ne bamunenya ne bagamba nti lwaki asabye mazzi
na taala nga ffe tulina enzizi nemiga Katonda bye yatuwa era
tulina netaala zemikono mu mayumba gaffe).
Amangu ago Owen Falls Hydro Electric Dam e Jinja ku muga Nile
yatandika okuzimbibwa, era Queen wa Bungerere Elizabeth II
yagigulawo mu 1954. Michael Kawalya Kaggwa yali Katikiro wa
Buganda okuva mu 1945 okutuuka mu 1950.
Katikiro eyaddako yali Paul Kavuma eyali azaalibwa mu Singo, ku
kyaalo Namungo era yali mutabani wOmutaka Munaku. Munaku
yali omu ka bassajja abalwanyi ba Kabaka abalwaana mu ntalo
ezagayiza Buganda.
Obukulembeze bwa Paul Kavuma bwaali bwa kiseera kizibu nnyo
kubanga bye byali ebiseera Sekabaka Mutesa II bwe yali mu
buwanganguse e Bungereza okuva November 30, 1953 okutuusa
October 17, 1955.
Kino kye kyali ekiseera Queen wa Bungereza bwe yajja
okuggulawo Dam yamasanyalaze e Jinja mu June 1954. Mu
biseera ebyo Abaganda baali banyivu nnyo olwa Governor Cohen
okuwangangusa Kabaka. Ate ebiseera bye bimu olutalo lwa MAU
MAU lwali lugenda mu maaso e Kenya ngAbakikuyu balwaanirira
Okwefuga kwa Kenya. Waaliwo olungambo nti Abaganda baali
5

bagenda kuleeta ba MAU MAU basaleko Queen omutwe nga aze


okugulawo Dam.
Katikiro Kavuma yakakasa Governor nti ekyo tekisobola kubawo
era nalagira Abaami Abamasaza nAmagombolola gonna mu
Buganda okulaba nti embeera teyononeka. Paul Kavuma yakola
nnyo okulaba nga Namirembe Conference eyatesa ku byokudda
kwa Kabaka, nga egenda bulungi. Namirembe Conference
yavamu Endagaano ya Buganda ne Bungereza eya 1955
eyakomyaawo Kabaka Mutesa okuva mu buwanganguse.
Mu biseera bye era Abazungu baali baagala okukola ejoogo
bazimbe railway egenda e Kasese nga eyita okumpi nOlubiri.
Abaganda bavaayo ne bakiwakanya nnyo era ne bagamba nti
ebyuma bya railway bajja kubikulayo. Katikiro Kavuma yagamba
Governor nti railway tesanye kuyita kumpi na Lubiri lwa Kabaka,
ekyo kye kyaavako railway okuyita emabega wekibuga Katwe,
weeyita kakati nga egenda e Kasese.
Kyewunyisa Mutesa bwe yakomawo, Olukiiko lwa Buganda
telwadamu kulonda Paul Kavuma ku Bwakatikiro, wabula lwalonda
Michael Kintu eyali omu ku Babaka ba Buganda mu Namirembe
Conference nabeera Katikiro wa Buganda.
Katikiro eyaddawo mu mwaka 1955, nga Kabaka Mutesa II
akomyeewo yali Michael Kintu eyava mu Ssaza lye Bulemezi.
Olukiiko lwa Buganda lwalonda Michael Kintu okubeera Katikiro
kubanga yakola nnyo mu Namirembe Conference okutereeza
Ebbago erya 1955 Buganda Agreement. Michael Kintu ye
yakulembera akakiiko (sub-committee) akalondebwa okutereeza
Ebbago eryo nekagyamu byonna ebyali binyigiriza Buganda
oluvanyuma enjuyi zombi, Buganda ne Bugereza, nezikiriza
Endagaano ya 1955.
Endagaano eyo Kabaka Mutesa yagissaako omukono wamu ne
Governor Cohen nga October 18, 1955 wabweru wOlubiri e
Mengo mu kifo kakati awatekeebwa Map ya Buganda.
Mu biseera bya Katikiro Kintu, mu mwaka gwa 1960, Buganda
yagezaako okulangirira Obwetwaze bwayo (Indepedence) naye
6

kino ne kitasoboka. Katikiro Kintu yava ku Bwakatikiro mu 1964,


akalulu bwe kakubwa ku Masaza Buyaga ne Bugangayizi
okuddayo e Bunyoro, Abaganda nebanyiga nnyo ne balumba
Bulange Katikiro Michael Kintu nebamukuba emigo ne Baminista
ba Buganda abalala nga mwe mwali neyali Omulamuzi wa
Buganda Owekitibwa A.D. Lubowa, olwo Gavumenti ye neegwa.
Michael Kintu ye yakulembera Ababaka ba Buganda abaagenda
mu Lancaster Conference okukakasa Constitution ya Uganda
eyaleeta Okwefuga. Katikiro Kintu nti ye teyasemba kyakuleeta
Obote okukolagaana naye mu mukago ogwakolebwa, naye
Abaganda abalala, abaakisemba, bamusinza amaanyi. Michael
Kintu ye yali ayagala Buganda ekolagane ne Ben Kiwanuka ne
Democratic Party, naye abawagizi ba Kabaka Yeka, ekyali ekibiina
kya Buganda, ne bamusinza amanyi.
Katikiro eyadirira Michael Kintu yali Owekitibwa J.S. Mayanja
Nkangi, ava mu Saaza lye Buddu. Mayanja Nkangi, Sekabaka
Mutesa yamwagala nnyo olwokuba nti yali Musajja muyigirize ate
nga yali mu namateeka eyasomera mu Oxford University e
Bungereza.
Ekyomukisa omubi, obukelembeze bwa Mayanja Nkangi
bwaakoma mu 1966, Milton Obote bwe yasindika amagye ne
gakuba Olubiri lwa Kabaka e Mengo, Kabaka nadukira mu
buwanganguzi e Bungereza era Obote nagyawo Obwakabaka mu
Uganda yonna okutuusa Abaganda bwe bamulwanyisa mu
1981/86 nga bali ne President Museveni ne bazaawo Obwakabaka
nga July 31, 1993.
Katikiro Mayanja Nkangi yakuuma Damula wamu ne Namulondo
mu kifo ekyekusifu abantu kyebatamanya okutuusa Obwakabaka
bwa Buganda lwe bwazzibwaawo.
Obwakabaka bwe bwadawo, Sabasajja Kabaka Ronald Muwenda
Mutebi II yalonda Owekitiibwa Joseph Mulwanyamuli Semwogerere
ava e Buddu, okubeera Katikiro wa Buganda. Joseph
Mulwanyamuli yali Katikiro okumala emyaka kumi nena okutuusa
lwe yawumula.
7

Katikiro Mulwanyamuli yakola nnyo okugatta Abaganda batandiike


okuzimba Buganda era nokuletawo enkolagana enungi ne
President Museveni ne Gavumenti ye.
Mu biseera bye Abaganda baali baagala nnyo enkola eya Federo
ebeerewo mu Buganda, naye kino President Museveni
natakikiriza. Naye era nekakati Abaganda bakyakiremedeko.
Kisubirwa okubeerawo mu nkyukakyuuka ezegenda okubeerawo
mu 2021 nga Constitution eno eriwo ekyusidwa.
Katikiro eyadawo nga Mulwanyamuli avude ku bwa Katikiro, yali
Owekitibwa Dan Muliika ava mu Ssaza lye Kyaggwe. Owekitibwa
Dan Muliika yali Katikiro wa Buganda okumala omwaka gumu. Mu
kiseera kye, Dan Muliika yali nnyo ku kyokuleeta Federal ya
Buganda era ne Buganda okwekolera ebintu byayo.
Tewaaliwo nkolagana nungi wakati we ne Gavumenti eya wakati
era ekiseera kyonna kye yali Katikiro teyayogerako ne President
Museveni wade edakiika emu. Kigambibwa nti olwembeera eyo,
Dan Muliika kye yava tamala kiseera kiwanvu ku Bwakatikiro bwa
Buganda. Abantu ba Buganda bamwagala nnyo olwobumalirivu
bweyalina okulwanirira Buganda.
Owekitibwa Dan Muliika bwe yava ku Bwakatikiro, Sabasajja
Kabaka yalonda Owekitibwa Engineer J.B. Walusimbi okubeera
Katikiro wa Buganda.
Katikiro Walusimbi mu biseera bye yakubiriza nnyo Abaganda
okwenyigira mu byobulimi. Ekintu ekirala ekirungi Katikiro
Walusimbi kyeyakola, yaleeta enkola eya Baganda okugula
Certificates za Buganda nga ekyagendererwa mu kino nti
Buganda efune sente okwezimba olwokuba nti yali tesolooza
musolo nga bwe kyalinga ku mulembe gwa Sekabaka Mutesa.
Eng. Walusimbi bwe yava ku bwa Katikiro, Sabasajja yalonda
Munamateeka Charles Peter Mayiga ava e Buddu, okubeera
Katikiro wa Buganda nokutuusa kakati.
Katikiro Charles Peter Mayiga akoze nnyo okukulakulanya
Buganda nokulaba nga Buganda etuuka ku ntiko, nga
8

bwakyogera ebiseera bino. Katikiro Mayiga aleese enkola empya


mu Bukulembeze bwa Buganda nokukulembeza ekyAbaganda
okukola ennyo okuzimba Buganda nokwezimba.
Katikiro Mayiga yakola bulungi nti bwe yamala okusoma e
Makerere University, yayingira Gavumenti ya Sabasajja Kabaka
nagikolela okumala ekiseera ekiwanvu, era yagenda okufuuka
Katikiro wa Buganda, nga Mengo amutegede bulungi era nga
amanyi ekyokukola.
Yaleeta enkola empya eyEtofali kati abantu bonna kye bamanyi
obulungi. Agenda eri abantu bonna mu Buganda, nebawaayo
sente okusinzira ku buli omu kyaba asobode, nadabiriza amasiro
ge Kasubi, era naazimba nEnyumba amatendo eyitibwa
MASENGERE eri okumpi ne Bulange e Mengo. Bwotuka ku
MASENGERE olabira ddala Buganda kyekoze mu kiseera kino
ekyobukulembeze bwa Katikiro Peter Mayiga.
Enkola empya Katikiro gye yaleeta, ye kenyini okutukirira abantu
nungi nnyo kubanga yamalawo enkola enkadde eyaliwo mu
Buganda emyaka egyeda, nga Katikiro nAbakungu e Mengo
babeera mu offisi zabwe e Mengo nebalinda abantu bagende gye
bali.
Katikiro Mayiga yaleeta enkola empya naagamba Abaganda nti
buli omu abeere ewabwe nga akola emirimu gye nze nja
kumutukako mu bwangu. Abantu baba baali ku mirimu gyabwe
mu byaalo nga Katikiro abatuseeko nga bamuwa etofali
eryokuzimba Buganda. Era nga abagamba nti ku lunaku bwe luti
mujanga e Kasubi ne Mengo ne mulaba etoffaali lye mumpade
kyerikoze. Kino takikoze mu Uganda woka, naye agenze ne mu
Nsi endala wabweru wa Uganda, Abaganda abaliyo nebamuwa
etoffali.
Katikiro Charles Peter Mayiga Katonda yamuwa ekirabo
ekyokwogera ebigambo ebirungi ebizimba, nokuwa abantu
amanyi okukola ennyo okukulakulanya Buganda. Buli lwayogera
eri abantu wonna waaba agenze, kyeyayogera olunaku oluyise
takidamu. Kyaaba ayogede olunaku olwo kiba kiggya ate nga
9

nakyo kizimba Buganda era kitura bulungi awo waaba


akyogerede. Mu bukulembeze bwe, abantu abamawanga amalala
beyongede okwagala Buganda nokukola emirimu egitali gimu mu
Buganda ne bagagawala.
Mu biseera bye Gavumenti ya Buganda ereese pulani nyingi
ezokulakulanya Buganda nokufunira Gavumenti ya Buganda
emirimu mwefuna sente. Kati Buganda erina television ate ne
woteri eyomulembe (Five Star Hotel) ezimbibwa ku Nyanja ya
Kabaka, nga kino kiri mu pulani eyokuzimba zi woteri mu bitundu
ebitali bimu mu Buganda, okutumbula ebyobulambuzi nga
abantu bangi banja nebalambula Buganda ne Uganda. Era
atadewo enkolagana enungi ne Gavumenti eya wakati.
Signed,
KAVUMA-KAGGWA
Omutaka we Kyaggwe
Mukono District.
Tel: 0772584423

10

Vous aimerez peut-être aussi